Skip to content Skip to footer

Col Dr Besigye ayagala Bobi wine ayimbulwe mu bwangu.

Bya Ritah Kemigisa.

Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr Col.Kizza Besigye  akaladde n’alagira government okwanguwa okuyimbula  omubaka we Kyadondo East MP Robert Kyagulanyi wamu nebanne kubanga byebabavunaana tebikola makulu.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire Besigye agambye nti bano baakwatibwa nebayisibwa nga eby’okutale, kale nga kino kikyamu era nga buli munna- Uganda agwana okukivumirira.

Ono mungeri yeemu avuluze n’ebigambibwa nti  Kyagulanyi  yasangiddwa n’emundu, nagamba nti bano tebalina bujulizi bwonna.

 

Leave a comment

0.0/5