Bya Ruth Anderah.
Omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake, Margret Tibulya akalize munamateeka Bob Kasango akole obusibe okumala emyaka 16, olwokubulankanya ensimbio ezaali ezakasiimo kabakozi abawummula nokujingirira ebiwandiiko.
Kooti era esingisizza abaali abakozi mu ministry yabakozi okuli eyali omuwandiisi owenkalakalira Jimmy Lwamafa ngasibiddwa myaka 9, eyali omubalirizi webitabo omukulu Christopher Obey emyaka 14 ne comisona eyali avunayzibwa ku kasiimo kabakozi Kiwanuka Kunsa.
Omulamuzi alagidde Kasango okuzza obuwumbi 3 nabasigadde obukadde 4, ate nobutaweebwa mulimu gownna mu gavumnti okumala emyaka 10.
Omulamuzi agambye nti yakizudde nga Kasango yeekweka mu companye eya banamateeka, eyagwa eya Hall and partners nabaako ebiwandiiko byeyatwala mu ministry eno nga alimba nga bweyali awozezza emisango gy’abaali abakozi 6,340 okuviira dala mu mwaka 1998 kale nga yeetaga nsimbi kyoka nga kino tekyali kituufu.
Ono erinya lya company ye ly’alabikira kulukalala lwabaali bagenda okusasulwa, kyokanga mpaawo kyebaali bakoze.
Kati omulamuzi era akizudde nga bano baali mu kkobaane okubba ensimbi zino.
Wabula bano era wetwogerera nga bali mu kkomera ku misango emiralala era gyanguzi.