Skip to content Skip to footer

Acanze omwana

mulago kids

Abadde katemba ku ddwaliro e Mulago abasajja babiri bebalwanidde omulambo gw’omwana abadde yakazaalibwa.

Kiddiridde maama w’omwana ono ategerekese nga Masitula Mbabazi okulimba abasajja bombi olubuto.

Mbabazi nga yakamala okuzaala yayise bba okukima omulambo kubanga omwana yabadde afudde kyokka nga yabadde yakatuuka n’omusajja omulala n’atuuka.

Omusajja ow’okubiri ategerekese nga Robert Kasumba alumirizza ng’omwana bw’abadde owuwe era ng’asaba mulambo gwa mwana we

Wabula yye omukyala alumirizza nti bba Latif Nkalubo ye nnanyini mwana ng’agamba nti kasumba abadde akuula mukuule

Leave a comment

0.0/5