Bya Tom Angurin
Okunonyereza okwakoleddwa aba Guttmacher institute, Public Health Ambassadors Uganda naba National Planning Population Council kulaze nti emiwendo gyabaana abawala abafa nga bekuusa ku kujjamu embuto, gyeyongedde.
Alipoota eraga nti abasinga okufa bali wakati wemyaka 15 ne 19 nga bakola 14%.
Kati ku bano 30% babuuka nembuto nga tebazetegekedde, kwekugezaako okuziwakulamu.
Bwabadde afulumya alipoota Lauren Firestein omunonyererza nekitongole kya GUTTMACHER agambye nti abaana bafa, mu mbeera eno wabula esoboka okwewalika.