Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Sembabule eriko abantu 3 beekutte nga kigambibwa nti betabye mu butemu obwakoleddwa ku namukadde owemyaka 70.
Mariam Kabagairika abadde mutuuze ku kyalo Nseese, mu gombolola ye Mijwala e Sembabule.
Poliisi egamba nti waliwo abazigu abalumbye, omukadde ono nebyambe mu maka ge, nebamutta, nga babadde batambuliira ku pikipiki.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango e Ssembabule, Samson Obicho agambye nti basoose kumutekako ebiwundu ebyamanyi, ku mikono neku bulago noluvanyuma nebamutta.
Ono agambye nti abantu 3 abakwatiddwa bagenda kuyambako mu kunonyereza.