Skip to content Skip to footer

Abazigu basse ssemaka na b’omu nnyumbaye babiri

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Lyantonde etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku bantu 3 abafamire emu, bwe bakubiddwa amasasi agabasse.

Bino bibadde mu kabuga ke Kaliro mu kiro ekikesezza olwaleero abakwata mmundu, era abatamanya ngamba bwebalumbye amaka gomutuuze Moses Lwabagabo, nebamutta ne mukyala we Cellen Nyakato.

Omulala afiridde mu bulumbaganyi buno ye Leokadia Kizza, muganda wabadde omukyala w’omumaka.

Abatuuze bagamba nti bawulidde enduulu namasasai nga gataokota mu kiro wbaula nebatya okudukirira, nga abzigu bayinza aokubakyukira.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Lyantonde Didas Byaruhanga akaksizza ettemu lino, ngagambye nti batandise okunonyereza.

Kati emirambo gitwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebejebwa.

Leave a comment

0.0/5