Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze b’e Matugga ku Mabanda mu Gombe Division, Nansana Municipality, mu Disitulikiti y’e Wakiso bakubiddwa enkyukwe omusajja bwasse mukaziwe.
Tumuramye Nicholas 29, ngakola gwa kutunga ngatto e Matugga mu kitundu ekyo, kigambibwa nti yakakanye ku muganzi we Kanye Hellen owemyaka 28 namusala ensingo ngakozesa akambe namutta.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza ettemu lino, ategezezza nga poliisi bwebakanye n’omuyiggo gwomusajja asobole okuvunanibwa.
Omubiri kati gutwalidwa mu gwanika lya KCCA.