Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akalala akagudde e Nakirembe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka
Abantu abalala mukaaga bafunye ebisago ebyamaanyi nga baddusiddwa ku ddwaliro lya Mpigi health center nga bali mu mbeera mbi.
Ababiri bano babadde batambulira mu motoka kika kya Prado namba UAN 690B ebadde egenda e Mbarara nga babadde bagenda kutaba mu mpaka z’okulonda omukyala anabeera endabirwaamu y’obulambuzi.
Dereeva y’emotoka mwebabadde batambulira emotoka emulemeredde ng’ayisa n’agikuba ekigwo.
Atwala poliisi mu kitundu kya Katonga Fabian Betubizza abagenzi abamenye nga Resty Namawejje omukozi ku NTV ne Norah Atim,abadde omubaka w’omulambuzi mu bukiikakkono.