Bya Isaac Otwii
Lira Central Police Station mu district ye Lira eriko omusajja owemyaka 47 gwegalidde, oluvanyuma lwokwewaayo gyebali nga kigambibwa nti yasoose kutta mukyala we owemyaka 48.
Omwogezi wa poliisi mu mambuka ga Kyoga, David Ongom akakasizza nti ono yakirizza okutta Sarah Akidi bweyakomyewo awaka ekikereezi.
Omukwate mutuuze ku kyalo Abor ‘A’ mu gombolola ye Adekokwok mu District ye Lira.
Omugenzi yalese abaana 4, nga bonna ono eyasse maama era yabadde kitaabwe.