Skip to content Skip to footer

Abe Bweyogerere bannenyezza abakulembeze baabwe

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku byalo okuli Bbuto, Ntebetebe ne Kazinga e Bweyogerere mu masekati ga  munispaali eye Kiira, bakulumidde abakulembeze bebagamba nti tebabafuddeeko, okubakolera enguudo.

Abatuuze bagamba nti enguudo ezirimu ebinnya, ate enfunda zezivuddeko obubenje obutaggwa.

Bano banenya mayor Julius Mutebi olwokulagajjalira enguudo.

Wabula kino town clerk Godfrey Kiwanuka akitadde ku kiton gole kyenguudo ekya UNRA, nti bebavunayizibwa ku ndiido ezimu wabulanga bakola kanagweramu eyo.

Leave a comment

0.0/5