Skip to content Skip to footer

Aba DP babuliddwa ekiffo awo’kutongoleza abaliko mu UYD

Bya Ivan Ssenabulya

Abekibiina kya Democratic Party abavuganya gavumenti, bakyasobeddwa nga babuliddwa okufuna ekiffo webanatongoereza ekibiina ekitaba abaliko mu UYD, oluvanyuma lwaba UMA okubagoba.

Wiiki ewedde ebikonge mu banabyafubuzi abyitako mu UYD balangirira olwanga 2nd May okutongoza ekibiina kino ku UMA e Lugogo.

Bwabadde ayogera ne banamawulire,ssenkaggale wa DP Nobert Moa ategezeza nti aba UMA nebiffo ebiralala byebatukiridde bakabatemye nti gavumenti yabalabudde, obutakyaza banabyabufuzi bano, wano nanenya nnyo gavumenti olwobwankyemalira.

Bano nga bakulembeddwamu omubaka we Butambala Muhamadh Muwanga Kivumbi, bategeeza nti bakulangirira entekateeka ezenjawulo okwongera okufufumya gavumenti.

Kati Mao agambye nti bolekedde kugenda mu biffo ebyolulale nga e Kololo nawalala.

Wabula omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo agambye nti ebigambo bya Moa byoleka bunfau bwe, kubanga bingi byalemererddwa mu bukulembez ebwe.

Kati amuwabudde olukiiko luno nti balukyalize mu lugya lwe, kubaanga agamba nti lugazi ekimala.

Leave a comment

0.0/5