Bya Shaimim Nateebwa
Eyafumise mugazi namutta oluvanyuma naye neyesala obulago amaze nafa.
Peter Baguma owemyaka 43 omutuuze we Kazo – Angola ye yavudde mu mbeera n’atemaatema mukyalawe, Prossy Nayebare gw’abadde yayawukana naye emyezi ena egiyise ng’amuteebereza obwenzi.
Ekikangabwa kino kyabdde Mpereerwe mu kifo ekimanyiddwa nga Ku musenyu nga kigambibwa nti Baguma yavudde e Kazo – Angola gy’abadde asula ewa mukulu we, Ssaalongo Richard Kitaka n’agenda e Kanyanya mu kifo ekimanyiddwa nga Mu Kijegere, mukyala we Nayebare gy’abadde asula ne mukwano gwe, era eno gye baavudde ne bajja e Mpereerwe Ku musenyu gye baalwanidde okukkakkana nga Baguma asiseeyo ekiso kye yabadde akukulidde mu mpale n’afumita Nayebare n’amutta, oluvannyuma naye ne yeesala ekiso kino ku bulago nga kati afiridde mu ddwaaliro e Mulago.