Bya Ben Jumbe.
Ebibiina byobwaakyeewa nate bizeemu okuteeka government kuninga nga bano baagala government ebategeeze weetuse mukukola enongosereza mu amateeka g’ebyokulonda.
Bano abeekozemu ekibiina kyabayise Game changer bagamba nti kooti ensukulu mu mwaka gwa 2016 eriko enkyukakyua z’eyalagira zikolebwe mu mateeka g’okulonda, kyoka nakakano mpaawo kyakoleddwa.
Kinajukirwa nti mu mwaka guno kooti yawa ensonga kumi ezeetaga okukolako , era n’asaba munamateeka wa government okufuba okulaba nga kino kitekebwa mu nkola mu banga lya myaka 2 gyokka.
Kati bwebabade boogerako ne banamawulire, bano okuli Michale Aboneka, ne Charity Ahimbisibwe basabye munamateeka wa government okuvaayo abategeeze waatuse ku nsonga eno
