Skip to content Skip to footer

Banamateeka baagala eteeka elyajja ekomo ku myaka gya pulezident ligobwe.

Bya Samule ssebuliba & Ruth Anderah.

Banamateeka abali mu musango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwana ogugenda mu maaso wano e Mbale basabye kooti okugoba eteeka lyonna, kubanga lyakolebwa nga lyesigama ku nsimbi ezabibwa mu gwanika lye gwanga.

Bwabadde ayogera ku lw’ababaka ba parliament mu kooti eno eya ssemateeka, Erias Lukwago agambye nti tewali teeka likiriza mubaka wa parliament okweyongeza nsimbi nti akola  kwebuuza ku bantu , kubanga bino byonna biggira ku musaala gwafuna nga omubaka.

Kati ono agamba akageri kekiri nti bano baanyaga gwanga okuyisaawo eteeka, abalamuzi bano bagwana wano webaba basinziira okugobera dala eteeka lyonna.

Ate ye munamateeka omulala James Byamukama agambye nti mukifo ky’okumalira obudde mukumenya ssemateeka , bano baalina kukola kimu kyakuzaawo komo ku bisanja.

Kati bano leero lwebakoma okuwaayo okuwoza kwabwe, ate enkya n’oludda lwa government nga lukulemberwa Mwesigwa Rukutana lutandike okwewozaako.

Leave a comment

0.0/5