Bya Ruth Anderah
Omusajja owemyaka 24 asimbiddwa mu kooti navunanibwa okufulungulanga sikaai zabakyala mu kibuga.
Godfrey Byanyima nga mutuuze we Mengo mu Kampala, asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise, wabula emisango agyegaanye.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa nga May 7th ku Ben Kiwanuka Street, ono yetabye mu bikolwa ebitasaana, ngalumba abakazi nababikkula engoye nokwogera ebigambo ebinene okukira emizindaalo.
Kati asindikiddwa ku kkomera ku alimanda, gyanajibwa okudda mu kooti nga May 20th omusango gwe gutandike okuwlirwa.