Skip to content Skip to footer

Aba pipo ppawa basse omukago ne Besigye

Bya Prossy Kisakye

Ab’ekisinde kya People power ekikulemberwa omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, batadde omukono ku ndagaano ne gavumenti ya Besigye, gye baatuuma people’s gavumenti okukolera awamu.

Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lwa bannamwulire wano mu Kampala omwogezi wa People Power Joel Ssenyonyi n’owa people’s government Betty Nambooze, bagambye nti endagaano eno erubiridde kwegatta, okukolera awamu nga betegekera okulonda kwa bonna okwa 2021.

bano bagambye nti mu kino basuubira nti nga gavumenti ya Besigye ne FDC ebeegaseeko, obuwanguzi bubali mu ttaano.

Leave a comment

0.0/5