Bya Barbra Nalweyiso
Poliisi e Mityana ekyazinzeeko amaka g’omusamize eyakwatiddwa olunnaku olwe ggulo.
Poliisi eno yazinzeeko amaka g’omusawo w’ekinansi n’emukwata ne bakyala be 2, oluvanyuma lwokutemezebwako nti abaddenga y’enyigira mu butemu nebikolwa ebiralala ebimenya amateeka.
Poliisi yazikudde ebisgalira byabantu, okwabadde obuwangwa n’ebirala.
Bino byabadde ku kyalo Zigoti East, mu Zigoti Town council mu district ye Mityana.
Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala Nobert Ochom, omuganga ono agambye nti ye Godfrey Luyombya owemyaka 75.
Abakyala be kuliko Carolyne Nankya ne Hamida Nakasinda nga wlaiwo nabaana be 5 bebakutte.
Kati amakya gano omubaka wa gavumenti Capt. Yahaya Kakooza, atubuliidde nti omuwendo gwabantu bebakakwata gweyongeddeko, okutuuka ku bantu 15 abagenda okuyamabko mu kunonyereza.