Skip to content Skip to footer

Asobeza ku mwana w’emyaka 5 akwatiddwa

Bya Prossy Kisakye

Poliisi mu district ye Rubanda eriko musajja mukulu ow’emyaka 64 gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku muzzukuluwe ow’emyaka etaano.

Omukwate ye Karirengye Edward nga mutuuze we Mushunga cell Kakyenaga mu Rubanda nga kigambibwa nti ono yakidde muzzukuluwe n’amutunuza mu mbuga ya setaani we baali balekedwa ewaka bokka

Okumanya ebyabaddewo kidiridde nnyina w’omwana ono okwagala okumunaaza wabula nga tayagala olw’obulumi obungi bweyabadde awulira n’oluvanyuma yategezeza nnyina ebyamutuuseko kwe kubaguliza ku police

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly Maate akakasiza okukwatibwa kwa nnamukadde ono era nategeeza nti agudwako gwakujula bitanajja.

Leave a comment

0.0/5