Bya Magembe Ssabiiti
Ebadde ntiisa ku kyalo Kasenyi mu Mubende municipaali omuliro bwegukute enyumba omwana Mark Jaison Judato ow’emyaka ebiri n’ekitundu nga munnansi wa ggwanga lya Philippine nafiiramu.
Maama w’omwana ono Kichoncho Kereya atubulidde nga bwakedde okuwa omwana we Caayi n’amuleka nga yebase n’agenda okunona olugoye ku kyalani ng’eno gye bamukubiridde essimu nga enyumba bwekute omuliro
O/C Atwala poliisi enkulu e Mubende Sekalema Hassan alabudde abazadde okukomya okuggalira abaana mayumba nga baliko webalaga kuba kivirideko abaana bangi okufira muliro.