Ab’ekibiina kya FDC basanyukidde eky’omkago gw’amawanga ga Africa ogwa IGAD okusalawo okuweereza amagye okukuuma emirembe mu ggwanga lya South Sudan.
Wabula omwogezi w’ekibiina kino Ibrahim Semujju Nganda agamba UPDF tebeera agamu ku magye ago kubanga balina kyekubirira.
Ssemujju agamba mu 2013 UPDF yawagira gavumenti ya mwami Salva Kiir kale nga singa baddayo bakwongera okusajjula embeera.
Gavumenti bino byonna ezze ebyegaana n’etegeeza nga yo bweyagenda e Sudan okukuuma emirembe.