Abkulira disitulikiti ye Sembabule basindise ekibinja ky’abasawo mu gombolola ye Lwebitakuli ekirwadde ekigambibwa okubeera omusujja gw’ensiri gyekyasse omuntu omu nga n’abalala bali ku ndiri.
Ku bafudde kuliko omuwala ow’emyaka 12 Agnes Katushabe sso nga mutowe Enid Natukunda y’addusiddwa mu ddwaliro nga ali bubi.
Omuvubuka omulala ow’emyaka 17 Paul Mujuzi 17 yemulala afudde ekirwadde kino mu disitulikiti ye sembabule.
Omuwala y’abadde afuluma musaayi nga amaaso ga kyenvu era y’afudde yakatuusibwa mu ddwaliro.
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti eno Dr. Charles Matovu agamba baasindise dda abakugu mu bitundu ebikoseddwa ekirwadde kino bongere okwekebejja abalwadde.