Skip to content Skip to footer

Kayihura asindise basajja be okusoma

kaiSsabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kayihura aliko basajja be basindise ku ttendekero lya Poliisi e Bwebajja bongere okubangulwa omwaka mulamba.

Bino bizze  wakayita olunaku lumu lwokka nga Kayihura kyajje akole enkyukakyuka endala mu poliisi.

Abamu kwabo abasindikiddwa okwongera okutendekebwa kuliko aduumira ekibinja kya flying squad Herbert Muhangi,  Polly Namaye amyuka omwogezin wa poliisi mu ggwanga, Siraje Bakaleke aduumira poliisi mu Kampala East,  James Ruhweza owa kampala n’emiriraano, Hassan Kihanda  n’abalala.

Ge Kayihura ategezezza nga bano bwebagenda okwongera okubangulwa naddala mu nsonga z’obukulembeze n’okukuguka mu nsonga endala ezikwata ku poliisi.

 

Bano baakutandika okutendekebwa amangu ddala

Leave a comment

0.0/5