Ssabapoliisi w’eggwanga General Kale Kayihura asabye abayeekera ba ADF besonyiwe obuyeekera kubanga kati kumala biseera nga anyiigira mu nzikiza oluvanyuma lw’okukwatibwa kw’abakulira Jamil Mukulu.
Kayihura agamba y’essaawa Uganda okukulakulana mukifo ky’okudda mu ntalo.
Alabudde nti gavumenti netefuteefu okufaafagana n’omuntu yenna ayagala okutabangula emirembe mu ggwanga bannayuganda mwebeyagalira.
Mukulu yalagiddwa bannamawulire olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okukomezebwaawo mu Uganda ku lw’okutaano.
Ono nno yakwatibwa gavumenti ya Tanzania okuva mu central African Republic gy’abadde asinziira okutigomya Uganda