Skip to content Skip to footer

Luyima abadde atwala poliisi yebidduka mu Kampala bamukyusizza

Bya Samuel Ssebuliba

Oluvanyuma lw’okwemulugunya ku nneyisa y’abasirikale ba poliisi y’ebidduka mu Kampala, waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu poliisi yebidduka.

Abamu ku bakyusiddwa ye Julius Luyima, ajiddwa ku CPS natwalibwa e Masindi ggy’agenda okukolanga OC traffic.

Wambesho Israel ajiddwa mu Kampala metropolitan nga regional traffic commander okudda e Ssezibwa era mu buvunayizibwa bwebumu.

Ziramule Loy ajiddwa e Masindi nga yagenda okukolanga OC wa traffic mu Kampala metropolitan.

Bino webijidde ngaddumira poliisi yebidduka mu gwanga Dr Steven Kasiima yayimirizza ebikwekweto ebibadde bikolebwa ku bodaboda neku Taxi mu Kampala, wabeewo okunonyererza ku basirikale ababddenga mu bikwekkweto bino.

Leave a comment

0.0/5