
Poliisi eriko emigugu gy’eboye nga gikubyeeko mijoozi gy’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi.
Emigugu gino bagikwatidde Malaba .
Ayogerera poliisi mu kitundu kye Bukedi Micheal Odongo agambye nti bakwataganye n’ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority okukwata emigugu gino egibadde giva mu Nairobi nga gyolekera Kampala.
Odongo anyonyodde nti emigugu gino gibadde ku baasi ya Pampa travelers namba No KBT 307B era nga gibadde gigenda kutikkirwa mu bitundu bye Nakawa
Ondongo agambye nti abaatisse emijoozi gino bategeezezza nga gino bwegibadde emivumba kyokka ng’emitima gibakubye kwekwetegereza ng’emijoozi gijjuddeko bifananyi bya Mbabazi.
Yye dereeva wa baasi eno ategerekese nga Martin Kanoni ategeezezza poliisi nti waliwo omuntu ategerekeseeko erya John eyabatisse ebigugu n’abalagira okugijjirako e Nakawa era nabo nebagyetikka
Bano bamaze nebayimbulwa