Skip to content Skip to footer

Besigye mwetegefu okukolagana ne Mbabazi

File Photo: Besigye ne mbabazi
File Photo: Besigye ne mbabazi

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ategeezezza nga bw’atalina buzibu bwonna kukolagana na Amama Mbabazi mu kusigukulula pulezidenti Museveni.

Besigye nga yesimbyeewo okukwatira FDC bendera mu 2016 agambye nti Uganda kati yetaaga nkyukakyuka, kale nga buli muntu alina okwanirizibwa.

Besigye agambye nti bannabyafuzi balina okulaba nga balwana okuddiza abantu obuyinza, obwatwaliba gavumenti.

Besigye era alangiridde nga bw’agenda okutwala omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kaihura mu mbuga z’amateeka lwa kulemesa nkungaana ze.

Leave a comment

0.0/5