Bya ben Jumbe .
Waliwo alipoota eraze nga banna-uganda abasinga bwebaasalawo okwebalama eby’obufuzi kubanga batya okutisibwatisibwa nadala mu kaseera k’ebyokulonda.
Mukunonyereza okwakoleddwa ekibiina ekya Afro barometer kwalaze nga banna- uganda ebitundu 48% bwebatya okubaako kyebogera, wadde okwesimbawo nga batya okulisibwa akakanja.
Twogedeko n’omukwanaganya w’ekibiina ekyakoze okunonyereza kuno Francis Kibirige n’agamba nti bakizudde nga abasinga okutisatiisa abantu kuliko abakola mu by’okwerinda , ebibiina bifuga, ebibiina ebivuganya government, kko n’abawagizi benyini nadala nga balabye omuntu omupya.
Wabula ono agamba nti okusinga abantu bagamba nti abawagizi b’ekibiina ekifuga mu uganda bazibu dala , era nga balemesezza abalala okwetaba mu by’obufuzi olw’okutisatiisa kw’ebabayisaamu.
