Bya shamim Nateebwa.
Katikkiro wa buganda owek. Charles Peter Mayiiga alambiise abakulembezze b’obwakabaka bwa Buganda ku kukolera awamu n’ebitongole eby’obwakabaka okusobola okuzza buganda kuntiko.
Katikiro okwogera bino abadde agulawo olusirika lw’abakulembezze b’obwakabaka bwa Buganda mwebatolambikidde ku namutaayiika 2018-2023.
Ezimu kumpagi eziri mu namutaayika ono kuliko okunywezza,okukuuma n’okutaasa Nnamulondo,okugabana obuyinza mu nkola eya Federo,okukuma ettaka nsalo za Buganda.
Mukwogera Katikkiro agambye nti emyaka 5 egy’anamutayiika akomekerezedwa, mubademu enkola z’obunafu mu bitongole by’obwakabaka nga kati asabye buli kitongole okubeera kalabalaba wa kinaakyo.
