Bya samuel ssebuliba.
E Nakaseke omubaka omukyala owa district Sarah Najjuma ategeezeza nga bwagenda okwewerekera agenda mu minisitule ekola ku by’enguudo nga ayagala kunyonyolwa lwaki enguudo ze Nkaseke ziringa ezigenda etanda.
Omubaka Najjuma, agamba nti bweyali yeebuza kubantu ku by’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, abantu baamugamba nti tabatawaanya na byabufuzi, bbo baagala nguudo.
Ono agamba nti abantu beeno balimi, kale nga enguudo zino zibalemesezza okutuusa ebintu byabwe mu butale bwa kampala