Abantu 4 bebafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwe Hoima wali e Buswabulongo .
Abagenzi kuliko abayizi 2, omukulu w’essomero wamu n’omusomesa ku ssomero lya Bright Future primary school.
Bano babadde bava Kyankwanzi nga bajja Kampala kulambula emmotoka mwebabadde n’etomera ekimotoka ky’amanda ekibadde kisimbye ku kubo.
Akulira okunonyereza mu poliisi y’okunguudo Patrick Mugisha agamba abagenzi tebanategerekeka wabula nga bbo abalala 21 baddusiddwa mu ddwaliro lye kiboga nga bali bubi.