Bya Musasai Waffe
Minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng ategezezza nga bannUganda 8000 bwebasobodde okumalalyo doozi zaabwe, ezokugemebwa kwa COVID-19.
Bwabade ayogerako naba NTV ku on the Spot akawungeezi ke’ggulo, Dr Aceng agambye nti eddagala eddala doozi emitwalo 17 nekitundu lyebafunye ligenda kubasobozesa okugema abantu bonna ababadde batanafuna doozi eyokubiri.
Bunpo agambye nti munaaba bunwaguzi obutukiddwako mu kugema nokulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Agambye nti ku ddagala eryasooka doozi emitwalo 96 mu 4,000 abasawo emitwalo 6 mu 9,000 bebagemebwa ku basawo emitwalo 15.
Akakasizza nti buli munnaUganda waakugemebwa, nga gavumenti erina entekateeka okufuna dggala eddala doozi emitwalo 68 mu 8,000 era okuva mu COVAX facility wakati wa July ne August omwaka guno.