Skip to content Skip to footer

Eyasiiga owemyaka 13 asibiddwa mayisa

Bya Ruth Anderah

Omusajja owemyaka 30 asindikiddwa ku nkomyo yebakeyo obulamu bwe bwonna, oluvanyuma lwokumusingisa omusango gwokusiiga omwana owemyaka 13 akakwuka ka mukenenya.

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Jane Frances Abodo, yasibye Sam Sempala ngasinziira ku bujulizi obuzze buletebwa mu kooti.

Omulamuzi agambye nti abantu ngaabo balina okujibwa mu banaaabwe, nebaberako eyo okusobola okukuuma abaaana be gwanga.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa omusango yaguzza mu March ne April wa 2016 e Kasangati mu district ye Wakiso.

Omusajja asibiddwa emyaka makumi 24 n’emyezi 4 lwakusobya ku mwana wa mwanyina.

Mabala Patrick myaka 42 asibiddwa omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Frances Abodo, oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gw’okusobya ku bujje.

Omulamuzi bwabadde awa ensalaye ategezezza nti, Mabala ekikolwa kye yakola kyaali kibi nyo era asaana okuvaako mu baana abazadde banywe kutuzzi.

Agaseeko nti omusajja ono yali alina obuvunanyizibwa ku mwana wa mwanyina ow’emyaka 9 naye nasalawo okubuvoora nasobya ku mwana alinga owuwe nga bwamutisa okumusalako obulago singa abulirako omuntu yenna.

Omusajja ono omusango yaguzza nga March 27th 2016 e Kisugu wano mu Kampala.

Leave a comment

0.0/5