Bya Samuel Ssebuliba
Eby’obulamu ky’ekimu ku nsonga ekulembezebwa naddala mu mawanga agakuze, era nga eno obujanjabi buvunaanyizibwa government wansi wa National Health Insurance Scheme
Mumawanga enkola eno gyeri,bannansi bonna baliko omutemwa gw’ebagibwako , ne government neegattako, kale bwebalwala zino ensimbi zebakozesa okufuna obujanjabi ku bwerere.
Okunonyereza okwakolebwa aba Uganda insurance regulatory Authority kulaga nga bannayuganda abakozesa insure ez’obulamu bwebakola ebitundu 0.3 % byokka.
Newankubadde guli gutyo, ye minister omubeezi akola ku by’obulamu Sarah Opendi agamba nti singa government ereeta enkola ya Insure eno, eby’obulamu byakutereera.
Twogedeko ne bannayuganda ab’enjawulo nga abasinga ebya insure y’ebyobulamu bawulira mpulire .