Bya Ivan Ssenabulya
Omuwendo gwabantu abafiridde mu kabenje mu district ye Kapchorwa gyulinnye okutuuka ku bantu 24, okusinziira ku poliisi.
Akabenje kano kaagudde e Toei mu Sipi ku luguudo lwe Kapchorwa-Bulambuli katugiddewo abantu 19 ku Lwokubiri nabalala nga bali mu ddwaliro ekkulu e Mbale nabamu wano e Kampala.
Bwabadde ayogerako naffe eggulo lino, omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Sipi Rogers Taitika, akaksizza nti waliwo abantu 3 abafiridde mu malwaliro e Kampala.
Ategezeza nti batandise nokunoonya abantu abo bebatanamanyako biakwato, nga batwaliddwa mu malwaliro agobwananyini.
Eno bus namba UG 2833/E eyetendekero lya Kiryandongo Technical Institute yalemrera omugoba waayo, ku kayiringito negwa neyevulungula enfunda eziwera.
Bus eno yalimu bakozi abekitongole kyobwanakyewa ekya National Cooperate Business-League of USA, abatuula e Masindi, nga baali bava kulambula e Kapchorwa.