File Photo: Omusajja nga asindika ekigaali kye bikajjo
Abakozi mu bikajjo bya Metha e Buikwe balayidde nti bakulonda abakulembeze abanakwata ku nsonga ezibaluma.
Bagamba basasulwa bubi atenga ettaka lyabwe balibatwala mu mankwetu, naye gavumenti mpaawo
kyekoze okubayamba.
Bino byebigambo byebategeeza banabyabufuzi
abatalaga eno nga babanonyamu obululu nti atabitunulemu teri kalulu.
Kidiridde Dr. Lugudde Nabatanzi okutalaaga mu bitundu bye Bikajjo ngasaba abeeno…
File Photo: Sekikuubo nga layiira
Omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo aweze okulwanyisa obulyake mu mu kibiina kye ekya NRM.
Ssekikubo okwogera bino abyogeredde ku mukolo gw’okumwaniriza okudda mu kibiina kya NRM ogwabadde mu katawuni ke Ntusi mu disitulikiti ye Ssembabule.
Ssekikubo agamba ekibiina kya NRM okusigala nga kyamaanyi kilina okuleka bamemba okwanja abavumaganya ekibiina n’okubaleka okwogera ku bitagenda…
File Photo : Eyali sabaminisita we gwanga
Akakiiko k’ebyokulonda kazzemu okulabula abo bonna abesimbyewo ku bwapulezidenti okwewalira ddala okukuba kampeyini nga obudde obwessalira tebunatuuka.
Okuddamu okulabula nga eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi kyajje alemesebwe okukuba enkungaana e Jinja ne Soroti wiiki eno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga gyebuvuddeko y’ategezezza nga Mbabazi bweyabadde alina kwebuuza ku balonzi…
File Photo: bana kibiina kya FDC ngali mu tabamiruka
Abakulembera ekibiina kya FDC batuuse ku kitebe ky’ekibiina okwongera okuteea ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Ekibiina kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino nga eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola ku nongosereza zino nga tebanagenda mu kulonda sso nga ye ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu…
File photo: Omuntu nga naba mu ngalo
Nga eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’okunaaba mungalo mu nsi yonna, gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kumanyisa abantu akalungi akali mu kunaaba mu ngalo ne sabbuuni.
Kiddiridde abaana okwongera okufa endwadde eziva ku buligo bw’obukyafu lwabutanaaba ngalo.
Omukwanaganya w;enteekateeka etumbula okunaaba mungalo mu ggwanga eya Hand Washing Initiative Uganda Robert Otim ategezezza…
File Photo: Onyango nga yogeera
Abazigu ababadde babagalidde n’emmundu bakubye omusajja amasasi agamutiddewo bw’abadde agezaako okubalmesa okubba ensawo ya mwanyina omubadde omukadde 16.
Bino bibadde wali mu zooni ya Kevina e Nsambya.
Aron Owmungu Buganda wa Ruth Ninsiima akola ku mobile Money y’akubiddwa amasasi mu kifuba oluvanyuma abatemu nebabukira bodaboda nebabulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala N’emirirano Partrick Onyango…
File Photo : Bukenya nga bamusitudde
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya azizzayo empapula z’okwesimbawo mu kamyufu k’anakwatira omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance mu kulonda kw’omwaka ogujja.
Empapula azizizza ku ofiisi z’omukago e Kololo.
Bukenya y’asoose okuzzaayo empapula zino nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016.
Foomu zino azikwasizza Bishop Zac Niringiye omu ku bakulu abatuula…
File Photo: Banamawulire nga bakola ogwabe
Ekibiina ekirera eddembe lyanamawulire mu gwanga ekya Human Rights network for Journalists kilabudde ebitongole ekikuuma ddembe naddala poliisi ne banabyabufuzi obutatyoboola ddembe lyabamawulire mubiseera byokulonda.
Omumyuka wakulira HRNJ, Johnson Mayamba alabudde
ku bikolwa ebinyigiriza abamawulire nawera nti bbo ngekitongole betegese okulwana na buli omu atagoberere mateeka nanyigiriza banamawulire.
File Photo: David Matovu ngali na bantu
Omubaka wa Presidenti omugya mu district ye Mukono Meja David Matovu alayidde okulwanyisa ekibba ttaka mu kitundu.
Ono bwabadde ayanirizibwa mu ofiisi alayidde nti wakulwanyisa kakibe ebiragiro bya kooti ebigendereddwamu okugobaganya abanaku ku ttaka lyabwe.
Annenyezza nyo abagagga mu gwanga gyayise emikono emiwanvu oluusi ejitalabika, bebaleese akavuyo akatagambika mu nsonga ze…
File Photo:Aba Police nga balawuna
E kasese omusajja asse mukyalawe naye neyetuga.
Abatuuze ku kyalo Kyondo bebagudde ku ntiisa eno oluvanyuma lw’okukeera okugwa ku mirambo gy’abafumbi ebiri.
Omulambo gw’omusajja gusangiddwa nga gulengejjera ku muti nga mukazi we afiiridde ku buliri sso nga omwana waabwe ow’emyaka 2 ali awo akaaba awatali ayamba.
Poliisi abagenzi ebamanenye Enosmus Byamukama nemukyalawe Nesigomwe Happinnes.
Omwogezi…