Skip to content Skip to footer

Aba FDC bakuteesa ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.

File Photo: bana kibiina kya FDC ngali mu tabamiruka
File Photo: bana kibiina kya FDC ngali mu tabamiruka

Abakulembera ekibiina kya FDC batuuse ku kitebe ky’ekibiina okwongera okuteea ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.

Ekibiina kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino nga eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola ku nongosereza zino nga tebanagenda mu kulonda sso nga ye ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu agamba bagende mu maaso n’okulonda yadde tebanakola ku nongosereza.

Abavuganya gavumenti n’ebibiina byobwanakyewa bazze babanja enongosereza mu mateeka gano wabula palamenti yayisa enongosereza mu ssemateeka nga mpaawo nongosereza za bya kulonda zitekeddwamu.

Ezimu ku nongosereza zebateesa kwekusattulula akakiiko k’ebyokulonda abakulu baleme kulondebwa mukulembeze wa ggwanga.

Leave a comment

0.0/5