
Akakiiko k’ebyokulonda kazzemu okulabula abo bonna abesimbyewo ku bwapulezidenti okwewalira ddala okukuba kampeyini nga obudde obwessalira tebunatuuka.
Okuddamu okulabula nga eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi kyajje alemesebwe okukuba enkungaana e Jinja ne Soroti wiiki eno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga gyebuvuddeko y’ategezezza nga Mbabazi bweyabadde alina kwebuuza ku balonzi mu nkiiko munda mu bizimbe sso ssi kukuba nkungaana.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu alabudde abo bonna abesimbyewo okwewala okumenya amateeka.