Gavumenti esabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bw’enonyereza ku kufa kw’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Aronda Nyakarima.
Kino kizze wakati mu biyitingana nti Gen Aronda yandiba nga yattiddwa.
Gen Kaihura agamba nti kano kaseera kakukungubaga sso ssi kusonga nnwe mu bantu.
Bbo abantu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira Aronda bangi gwebogerako ng’omusirise kyokka ng’abadde mukozi.
Ababaka aboogeddeko naffe bagamba nti Aronda akoleredde nnyo eky’okutereeza embeera n’eneyisa ya bannamaggye.
Ate okuddako mu maka ga Gen Aronda agasangibwa e Buziga, embeera ya kiyongobero ng’abenganda n’emikwano balabiddwaako nga batuuka mu maka gano.
Mu kusooka amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Yakyaddeko mu maka gano era n’akubagiza ab’omunju
Ne Pulezidenti Museveni abadde wakukyala mu maka gano kyokka bannamawulire bafuumuddwaayo.
Aronda eyafudde ng’aweza emyaka 56 yalese abaana babiri ne Namwandu