
Poliisi ye Mijwala mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gwa maama kalittima eyasudde omwanawe ow’ennaku 2 mu kabuyonjo.
Ebbujje lino nyina atanategerekeka lisangiddwa mu kabuyonjo ka Paddy Walakira omutuuze we Kanyumba ku kyalo lwamatabazi .
Omu ku batuuze Ignatius Lukandwa ategezezza nti omwana abadde agenze mu kabuyonjo y’awulidde omwana nga akaaba era bagenze okuyikuula kabuyonjo eno nga ebbuje liri wansi.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza ettima lino n’ategeeza nga poliisi bweyambiddwako abatuuze okunyululua omwana ono.
Ategezezza nga omwana bw’atwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa nga bwebayigga maama ono kalittima eyakoze kino.