Abakuumi b’amakomera basaanye okuddamu okutendekebwa okusobola okukwasanga bulungi abazzi b’emisango bakiwagi.
Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima agamba abakuumi bano tebafuna kutendekebwa kwakinamagye sso nga bakuuma abasibe abomutawaana.
Aronda agamba bano baabulabe nyo eri abakuumi bano kale nga baaana baaana okuddamu okutendekebwa engeri y’okukwasaganya abasibe bano awatali kubalumba kubatuusako bulabe.
Ono era ategezezza nga Uganda bwekwata ekifo ky’omwenda mu mawanga agalina abasibe abanji mu Africa nga egganga lya South Africa lyelikwata ekisooka.
Bino Aronda abyogeredde mu lukungaana lw’ebyamakomera mu Africa olwetabiddwamu abatwala amakomera agenjawulo mu Africa.