Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Kisoro eriko omulambo gwomukazi gwenyuludde, okuva mu mugga.
Maniraguha Merida owemyaka 45 abadde mutuuze ku kyalo Kabaya B mu gombolola ye Busanza e Kisoro.
Omulambo gwe gwasangiddwa nga gutengejjera ku mugga Kaku ku kyalo Gitovu mu gombolola yeemu.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte omugenzi abadde yabula okuva ku Lwokutaano, nga tekimanayikiddwa kiki ekyamutukako.
Omulambo kati gutwaliddwa mu gwanika okwekebejjebwa, nga nokunonyereza kutandise.