Kkooti yokuntikko eragidde eyali omuyekeera wa Kony nga ono ye Thomas Kwoyelo avunanibwe mu kkooti enkulu ekola ku misango gy’ensi yonna.
Abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe basazeewo nti ssabawaabi wa gavumenti yetongodde nga era asobola okulondawo ani owokuvunaana.
Abalamuzi basazeewo nti ssabawaabi wa gavumenti okusindika Kwoyelo mu kkooti avunanibwe y’ali akola mulimu gwe olw’ebikolobero Kwoyelo ono byeyazza mu lutalo.
Kwoyelo y’ali y’asaba ekisonyiwo kkooti etaputa ssemateeka n’eragira kimuweebwe nga abaali abayeekera abalala wabula ssabawaabi wa gavumenti n’agaana okuteeka omukono ku mpapula zino nga ayagala avunanibwe era ekisonyiwo tekimusaana.
Ssabawaabi yeyongerayo mu kkooti ensukulumu nga awakanya kkooti etaputa ssemateeka ekkiriziganyizza naye olwaleero.