
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II avumiridde ebikolwa by’okusaddaaka abaana ebyeyongedde okwetolola eggwanga.
Mu bubaka bwe obwa Eid beene ategezezza nga okuyiwa omusaayi olw’obugagga bwetali nkola yamubuntu kale nga ekivve kino kisaanye okukoma.
Kabaka ategezezza nga Eid bwelina okubeera eyamakulu eri abakkiriza okujjukira nti ebisolo byebirina okusassakibwa sso ssi bantu nga nabbi Ibrahim bwebamukyusirizaamu endiga mu kifo kyamutabaniwe Ismail gweyali agenda okusala.
Sseggwanga ategezezza nti Mukama Katonda y’awa obuloamu kale nga yeyekka alina okubugyawo.
Ekisaddaaka baana ebiseera ebisinga kinenyezebwa nyo buwangwa ne nnono.