File Photo: Kabaka nga yogeera
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II avumiridde ebikolwa by’okusaddaaka abaana ebyeyongedde okwetolola eggwanga.
Mu bubaka bwe obwa Eid beene ategezezza nga okuyiwa omusaayi olw’obugagga bwetali nkola yamubuntu kale nga ekivve kino kisaanye okukoma.
Kabaka ategezezza nga Eid bwelina okubeera eyamakulu eri abakkiriza okujjukira nti ebisolo byebirina okusassakibwa sso ssi bantu nga…