Skip to content Skip to footer

Mukyala Museveni akakasizza nti tebagenda kubagira baana mpeke za kizaala ggumba

Bya Ndaye Moses

Minister owebyenjigiriza nemizannyo Janet K Museveni ategezeza nti tebajja kumala gakiriza okugaba empeke eza kizaala ggumba mu baana abawala mu masomero.

Mukyala Museveni bino abyogererdde mu distrct ye Kyenjojo ku mikolo gye gwanga egyolunnaku lwomwana womuddugavu, olwaleero.

Agambye nti ebiweke bino byabuilabe eri abaana abawala ku myaka emitto, songa era kyandibavirako okwongera okuyiga emizze gyokwegadanga.

Agambye nti abangi bandimalirizanga bagwererdde mu bwamalaaya, nabamu nebawanduka mu masomero.

Bino webijidde nga wabaddewo okwemulugunya okuva mu bannadiini nabamu ku bataka nti bawulira entekateeka ezokutandika okubagira abaawa abawala agaweke gokwegema okuzaala.

Leave a comment

0.0/5