
Mu ggwanga lya Brazil abantu 15 bafiiridde mu kabenje ka baasi eremeredde omugoba waayo neyevulungula enfunda mu kibuga kye Paraty.
Abantu abalala 30 bbo baddusiddwa mu ddwaliro nga bai mu mbeera mbi nga era enyonyi zezibayambye okubaddusa mu malwaliro.
Baasi eno okusinga ebaddemu balambuzi nga era poliisi ekyanonyereza ekiviriddeko akabenje kano.
Embeera mu kitundu kino ziri mu mbeera mbi nga era abatuuze bazze bekalakaasa ku nsonga eno.