
Omuwendo gw’abayizi abeyongera okusaba okuwolebwa ensimbi z’okweyongerayo okusoma mu matendekero agawaggulu gwongedde okwelalikiriza abagaddukanya.
Abayizi abasoba mu 4600 kati bebakasaba ensimbi zino sso nga gavumenti eyagalako 1200 bokka.
Akulira enteekateeka eno mu matendekero gano Michael Wanyama agamba olukiiko lwakulembera lwakutuula wiiki ejja okusengejja abo abalina ebisanyizo.
Ategezezza nga bwebakiziddu nti n’abayizi abali mu mwaka ogwokubiri n’ogwokusatu bwebasabye ensimbi zino sso nga abali mu mwaka ogusooka bebalina okuganyulwa mu nteekateeka eno.
Omwaka gw’ebyensimbi guno gavumenti y’awaayo obuwumbi 11 okuwola abayizi ensimbi z’okweyongerayo okusoma naddala abakola amasomo ga sayansi.