
Kkooti y’ensi yonna yeganye ebigambibwa nti eriwo kuvunaana bakulembeze ba Africa bokka.
Omukwanaganya wa kkooti eno mu Uganda ne Kenya Maria Kamara ategezezza nga kkooti eno bweliwo okukuuma abatusibwako ebokolobero .
Omukulembeze w’eggwanga azze alumba kkooti eno okulemererwa okukwata ku bakulembeze abalala abakola ebikolobero nebadda ku bakulembeze ba Africa nebatuntuza.
Bweyabadde ayogera webatuuse ku musango gw’eyali omuyekera wa Kony Dominic Ongwen mu tawuni ye Lira, Kamara yu’ategezezza nga emisango 22 bwegyaletebwa eri kkooti eno naye nga tekuli gwa Africa.
Amawanga 123 ga memba mu kkooti y’ensi yonna.