
Ye ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao olwaleero asuubirwa okujjayo empapula z’okwesimbawo ku tikiti y’omukago gwa Democratic Alliance nga guno gwegugatta ebibiina ebivuganya gavumenti.
Mao empapula zino y’alina okuzigyayo ku lwokutaano wabula n’awabulwa ab’omukago okuzigyayo amakya galeero.
Omu ku baddukanya omukago guno Peter Ssempijja agamba buli kyetagisa kyategekeddwa nga balinze bagyayo mpapula.