Eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi olwaleero lwatandika okwebuza ku balonzi .
Mbabazi asuubirwa okwolekera Mbale olvanyuma ayolekere Kapchorwa, Soroti ne Jinja ku lwokuna.
Omwogezi wa Mbabazi Josephine Nkangi ategezezza nga bwebagenda okukuba enkungaana nga era basubira abantu abasoba mu looo buli webanatuuka.
Nkangi agamba ab’obuyinza wamu ne ssenkaggale wa poliisi babategezezza dda ku buli mimu.
Emyezi 2 emabega poliisi yalemesa Mbabazi okwebuuza ku balonzi bweyamutegeeza nti yali takkiriziddwa kibiina kye ekya NRM.